Skip to main content
SearchLoginLogin or Signup

Bannassaayansi bateesa enkola esinga okuba ey’ebbeeyi eyawansi mu kufumba amazzi mu Zimbabwe.

Luganda translation of DOI: 10.1007/978-3-319-93438-9_1

Published onJun 01, 2023
Bannassaayansi bateesa enkola esinga okuba ey’ebbeeyi eyawansi mu kufumba amazzi mu Zimbabwe.
·

Omutetenkanyirizo oguyamba mu kukozesa amasannyalaze g’Enjuba n’Okukozesa Amasannyalaze g’Enjuba obulungi mu Kufumba Amazzi

 Ekika ky’okukuŋŋaanya amaanyi g’enjuba wamu n’omuwendo gw’Ebikuŋŋaanya ebikozesebwa bikulu mu kuteekateeka era bikola kinene mu kusikiriza enkozesa y’amasannyalaze g’enjuba.

Mu lupapula luno, omutetenkanyirizo ogukekkereza amasannyalaze g’enjuba gwakulaakulanyizibwa olw’okubalirira ekibalo ekisaana mu kuyamba okulondako ekikuŋŋaanya amaanyi g’enjuba ekisinga obulungi okusobola okukozesebwa mu kufumba amazzi ku masannyalaze g’enjuba era ne mu kusalawo ekigero ky’enkola y’okufumba amazzi ku masannyalaze g’enjuba ekisinga obulungi mu bunene, kasita kiba nti ekikuŋŋaanya amaanyi g’enjuba kimaze okulondebwako.

Ekibalo ky’okugeraageranya amaanyi-ku-buli-doola, nga kibalibwa ng’amaanyi agafuluma buli mwaka ku kikuŋŋaanya ebbugumu, ku ekyo kye twayise “ekintu ekirungi” era tugabizzaamu ebbeeyi yaakyo mu mwaka, n’okusinziira ku bulamu bwakyo obuteereddwako akakalu n’ebbeeyi esookerwako, byasembebwa ng’ebisinziirwako mu kugeraageranya obulungi bw’ebbeeyi bw’ebikuŋŋaanya amaanyi g’enjuba.

Okusobola okugera “ekintu ekirungi” eky’ekigero ky’ekikuŋŋaanya amaanyi g’enjuba ekyokukozesa mu nkola emu ey’okufumba amazzi ku masannyalaze g’enjuba, ng’amaanyi-ku-buli-doola gabaliriddwa, Omutetenkanyirizo gw’Amaanyi g’Amasannyalaze ogusinga okukekkereza gwakozesebwa ng’ekigendererwa ekisinga okutunuulirwa.

Emitetenkanyirizo egy’enjawulo kkumi (10) egikuŋŋaanya amazzi g'amaanyi g'enjuba (5 egy’ebisowaani ebibyabyatavu n’emirala 5 egy’engeri y’olupiira), egibalwa Ekitongole kya Solar Ratings & Certification Corporation (SRCC), gyasiŋŋanyizibwa okusinziira ku maanyi-ku-buli-doola mu kukozesa omutetenkanyirizo gw’obukkekkereza bw’amasannyalaze g’enjuba ogunnyonnyoddwa mu kunoonyereza kuno.

Mu kutunuulira ekituntu ekirungi ku nkola y’okufumba amazzi ku masannyalaze g’enjuba, ekigero ky’obungi bw’amazzi agookya mu ttanka wamu n’ekigero ky’amasannyalaze g’enjuba nabyo bigerwa mu kiseera kyekimu.

Ekigero ky’amazzi ageetaagisa agaterekebwa kikendeera nga kigoberera okweyongera kw’ekikuŋŋaanya amazzi ate ng’ekigero ky’amazzi kyeyongera nga kigoberera okweyongerera kw’amazzi, okutuuk ku kigero ky’omuwendo ogwawamu.

Mu kunoonyereza kuno okwakolebwa, ng’ebbugumu eryetaagisa liri 50 °C ate ng’enkola y’okufumba amazzi ku masannyalaze g’enjuba eri mu masekkati ga zimbabwe (latityudi 19° S ne longityudi 30° E), enkola y’okukuŋŋaanya erondebwako yali eyo ey’ekisowaani ekibyabyatavu, eyatuwa ekibalo ky’amaanyi ku-buli-doola ekya 26.1 kWh/$.

Ekigero ekisinga obulungi eky’ekikuŋŋaanya amaanyi g’enjuba mu mutetenkanyirizo guno okukozesebwa mu nkola y’okufumba amazzi mu kifo ekyatunuulirwa kyali 18 m2 ku buli m3 ku mazzi ageetaagibwa buli lunaku; ng’amazzi agookya agaterekebwa gali 900 l/m3; ku kigero ky’amaanyi g’amasannyalaze ekisinga obungi ekiwera 91%.

Wadde ng’akakodyo k’olupapula luno kaakozesebwa ku masannyalaze g’enjuba agafumba amazzi ku bbugumu eggere, mu kifo ekimu, kasobola okukozesebwa obulungi ku nfumba y’amazzi endala yonna ey’amasannyalaze g’enjuba mu kifo ekirala ekirala.


Bannassaayansi bateesa enkola esinga okuba ey’ebbeeyi eyawansi mu kufumba amazzi mu Zimbabwe.

 Engeri Zimbabwe gy’erina obuzibu bw’amasannyalaze, Gavumenti esemba enkola y’okufumba amazzi ku masannyalaze g’enjuba okusobola okukendeeza ku bwetaavu bw’amasannyalaze.

Okunoonyereza kuno kwalengera enkola y’okufumba amazzi n’amasannyalaze g’enjuba nga y’esinga obulungi okuyamba Zimbabwe, mu kukozesa omutetenkanyirizo ogusobola okukozesebwa mu ggwanga eddala lyonna.

 Enkola y’okufumba amazzi ku masannyalaze g’enjuba ekozesa amaanyi agava ku njuba okufumba amazzi agakozesebwa ewaka, era mu Zimbabwe, enkola eno abantu bagisanyukidde mu kiseera kino ng’amasannyalaze nga ga bbula.

Wabula, enkola zino zisobola okubeera ez’ebbeeyi era ebika eby’enjawulo byakula mu ngeri za njawulo era obunene bwazo bwanjawulo era zirina obusobozi bwanjawulo okufumba obulungi amazzi.

Abanoonyereza baakozesa omutetenkanyirizo gw’ebibalo okuzuula ekigero ekituufu kyennyini eky’enkola efumba esobola okukuŋŋaanya ebbugumu erisinga obungi okuva ku njuba ku muwendo ogusinga okuba wansi.

 Okusobola okuzuula “ekintu kino ekirungi” abanoonyereza baapima amaanyi g’ebbugumu buli nkola g’esobola okukuŋŋaanya okuva ku njuba okumala omwaka mulamba, era ne bagabanya ebbeeyi yaayo mu doola okuzuula ebbeeyi yaayo mu kukozesa ekipimo kya buli doola.

Okunoonyereza kuno kwakozesa omutetenkanyirizo gw’Amaanyi g’Amasannyalaze ogusinga okukekkereza (Net Present Value of Solar Savings) ku bika by’amaanyi g’amasannyalaze 10 ebifumba amazzi era ne gisengekebwa okuva ku eyo esinga okuba ey’ebbeeyi ku buli doola okukka wansi.

 Era, abanoonyereza baakozesa obungi bw’amazzi buli nkola bw’esobola okufumba okusobola okugera ekigero gy’amaanyi ku buli doola.

Kiri bwe kityo lwa nsonga nti ekikuŋŋaanya amaanyi g’enjuba gye kikoma obunene, amazzi agasobola agookya agasobola okugenda mu nkola eno gye gakoma obutono, ate ng’okunoonyereza kuno gwagendereza okuzuula “ekintu ekirungi” wakati w’obungi bw’amazzi agafumbwa n’obungi obukuŋŋaanyizibwa.

 Okunoonyereza kwagezesebwa enkola z’okufumba amazzi ku masannyalaze g’enjuba 10 ku bbugumu lya 50 C, nga lye bbugumu erisinga okubeera mu masekkati ga Zimbabwe ku tatityudi 19° mu bukiikaddyo ne longityudi 30° mu Buvanjuba.

Abanoonyereza baazuula nti enkola y’okufumba amazzi ku masannyalaze g’enjuba esinga obulungi era esinga ebbeeyi entono yeeyo esinga obubyabyatavu era nga ye yasinga okubeera n’amaanyi amangi ku kigero kya buli doola 26.1 kiloWatt buli ssaawa (kWh/$).

Mu kukozesa omutetenkanyirizo guno ogw’okufumba amazzi ku masannyalaze g’enjuba, abanoonyereza baabalirira nti gusobola okufumba liita z’amazzi 900 nga gukozesa ebitundu 91% eby’amaanyi g’enjuba ge gufuna okuva ku njuba.

Ebyazuulibwa bino bikola ku nkola z’okufumba amazzi ku masannyalaze g’enjuba mu Zimbabwe, naye ng’abanoonyereza basemba nti omutetenkanyirizo gwe baakozesa mu kunoonyereza kuno gusobola okukozesebwa mu nfumba z’amazzi endala ez’amaanyi g’enjuba mu kifo ekirala kyonna.


Connections
1 of 4
Comments
0
comment
No comments here
Why not start the discussion?